Luke 2:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasumba ne baddayo nga bagulumiza n'okutendereza Katonda olw'ebyo byonna bye baali balabye ne bye baali bawulidde nga bwe byali bibagambiddwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abasumba ne baddayo gye balundira ebisibo byabwe, nga bagulumiza era nga batendereza Katonda, olw’ebyo byonna bye baawulira era ne bye baalaba nga bwe baali bategeezeddwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abasumba ne baddayo, nga bagulumiza nga batendereza Katonda olw'ebigambo byonna bye baawulira, ne bye baalaba, nga bwe byabaabuulirwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abasumba ne baddayo nga bagulumiza era nga batendereza Katonda, olw'ebyo bye bawulidde, ne bye balabye. Byonna byali ddala nga malayika bwe yali abibabuulidde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abasumba ne baddayo, nga bagulumiza nga batendereza Katonda olw'ebigambo byonna bye baawulira, bye baalaba, nga bwe baabuulirwa.