Luke 2:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ennaku ez'okutukuzibwa kwabwe bwe zaatuuka, nga bwe kiri mu tteeka lya Musa, ne bamutwala e Yeruzaalemu okumusingira Omukama,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ekiseera bwe kyatuuka Maliyamu okugenda mu Yeekaalu atukuzibwe, ng’amateeka ga Musa bwe galagira ne batwala Yesu e Yerusaalemi okumuwaayo eri Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ennaku ez'okulongooka kwabwe bwe zaatuuka ng'amateeka ga Musa bwe gali, ne batwala Yesu ne bamwambusa e Yerusaalemi, okumwanjulira Mukama
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yosefu ne Mariya bwe baatuusa ennaku ez'okutukuzibwa kwabwe, eziragirwa mu Mateeka ga Musa, ne batwala omwana Yesu e Yerusaalemu okumwanjula eri Mukama,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ennaku bwe zaatuuka ez'okulongooka kwabwe ng'amateeka ga Musa bwe gali, ne bamutwala ne bamwambusa e Yerusaalemi: okumwanjulira Mukama