Luke 2:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'okuwaayo ekitambiro, nga bwe kiri mu tteeka ly'Omukama: amayiba abiri oba obuyiibwa bubiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era mu kiseera kye kimu bakadde ba Yesu ne bawaayo ssaddaaka amateeka nga bwe galagira okuwaayo amayiba abiri oba enjiibwa bbiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'okuwaayo ssaddaaka nga bwe kyayogerwa mu mateeka ga Mukama, bukaamukuukulu bubiri, oba obuyiba obuto bubiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era baagenda okuwaayo eky'okutambira, ng'etteeka lya Mukama bwe liragira: enjiibwa bbiri oba amayiba amato abiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'okuwaayo asaddaaka nga bwe kyayogerwa mu mateeka ga Mukama, bukaamukuukulu bubiri, oba obuyiba obuto bubiri.