Luke 2:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'ajja mu Kiggwa ng'afuuyiriddwa Mwoyo Mutuukirivu. Abazadde bwe baali bayingiza omwana mu Kiggwa, balyoke bamukole ng'empisa ey'etteeka bwe yali,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mwoyo Mutukuvu n’amuluŋŋamya okujja mu Yeekaalu. Maliyamu ne Yusufu bwe baaleeta Omwana Yesu okumuwaayo eri Mukama ng’amateeka bwe galagira, ne Simyoni naye yaliwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Simyoni n'ajjira mu Mwoyo mu Yeekaalu: abakadde bwe baayingiza omwana Yesu mu Yeekaalu okumukola nga bw'eri empisa y'amateeka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Simyoni n'ajja mu Ssinzizo, nga Mwoyo Mutuukirivu ye amugambye. Abazadde bwe baatuusa omwana Yesu mu Ssinzizo okutuukiriza etteeka,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ajjira mu Mwoyo mu yeekaalu: abakadde be bwe baayingiza omwana Yesu okumukola nga bw'eri empisa y'amateeka,