Luke 2:34 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Simewoni n'abaagaliza omukisa; ate n'agamba Mariya nnyina nti: “Ono ateekeddwawo ku lw'okuzikirira ne ku lw'okuzuukira kw'abangi mu Yisirayeli; era aliba akabonero ke banaawakanyanga;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Simyoni n’abasabira omukisa. N’alyoka n’agamba Maliyamu nti, “Omwana ono bangi mu Isirayiri tebagenda kumukkiriza, era alireetera bangi okugwa n’abalala ne bayimusibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
awo Simyoni n'abasabira omukisa, n'agamba Malyamu nnyina nti, “ Laba, ono ateekeddwawo bangi mu Isiraeri bagwenga n'abalala bayimirirenga, n'okuba akabonero akavumibwa;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Simyoni n'abaagaliza emikisa, ate n'agamba Mariya, nnyina w'omwana nti: “Omwana ono ateekeddwawo, bangi mu Yisirayeli bagwe, ate bangi bayimuke. Era ajja kuba akabonero ke bajja okuwakanya,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo Simyoni n'abasabira omukisa, n'agamba Malyamu nnyina nti Laba, ono ateekeddwawo bangi mu Isiraeri bagwenga bayimirirenga, n'okuba akabonero akavumibwa;