Luke 2:36 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era waaliwo ne Anna omulanzi omukazi, muwala wa Fanuweli, ow'omu kika kya Aseri; yali ayise mu myaka. Yamala ne bba emyaka musanvu okuva ku bubeererevu bwe,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Waaliwo nnabbi omukazi, ayitibwa Ana, muwala wa Fanweri, ow’omu kika kya Aseri, era nga mukadde nnyo, eyafumbirwa nga muwala muto n’amala ne bba emyaka musanvu gyokka, bba n’afa,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo waaliwo Ana, nnabbi omukazi, omuwala wa Fanweri, ow'omu kika kya Aseri era yali mukazi mukadde, yafumbirwa nga muwala muto, n'abeera ne bba emyaka musanvu,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era waaliwo omulanzi, omukazi erinnya lye Anna, muwala wa Fanuweli, ow'omu Kika kya Aseeri. Yali mukazi mukadde. Yafumbirwa nga muwala muto, n'amala emyaka musanvu mu bufumbo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo waaliwo Ana, nnabbi omukazi, omuwala wa Fanweri, ow'omu kika kya Aseri (yali Yaakamala emyaka mingi, yabeera ne bba emyaka musanvu okuva mu buto bwe,