Luke 2:37 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'aba nnamwandu okutuusa ku myaka kinaana mu ena. Teyavanga mu Kiggwa, ng'asiiba, yeegayirira n'okuweereza emisana n'ekiro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’asigala nga nnamwandu. Mu kiseera kino yali yaakamala emyaka kinaana mu ena, era teyavanga mu Yeekaalu ng’asiiba n’okwegayiriranga Katonda emisana n’ekiro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye yali nnamwandu nga yaakamala emyaka kinaana mu ena (84), era teyavanga mu Yeekaalu, ng'asinza n'okusiibanga n'okwegayiriranga ekiro n'emisana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okuva olwo yali yaakamala emyaka kinaana mu ena nga nnamwandu. Teyavanga mu Ssinzizo. Emisana n'ekiro yabeeranga mu kuweereza Katonda na mu kumwegayirira, era ng'asiiba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye yali nnamwandu nga yaakamala emyaka kinaana mu ena), ataavanga mu Yeekaalu, ng'asinza n'okusiibanga n'okwegayiriranga ekiro n'emisana.