Luke 2:39 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baamala okutuukiriza byonna nga bwe biri mu tteeka ly'Omukama, ne baddayo e Galilaaya mu kibuga kyabwe Nazareti.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bakadde ba Yesu bwe baamala okutuukiriza byonna ng’amateeka ga Mukama bwe galagira, ne baddayo e Nazaaleesi eky’omu Ggaliraaya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe baamala okutuukiriza byonna ebiri mu mateeka ga Mukama, ne baddayo e Ggaliraaya, mu kibuga ky'ewaabwe e Nazaaleesi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baamala okutuukiriza byonna ebiragirwa mu tteeka lya Mukama, ne baddayo e Galilaaya mu kibuga ky'ewaabwe, e Nazaareeti.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe baamala okutuukiriza byonna ebiri mu mateeka ga Mukama, ne baddayo e Ggaliraaya mu kibuga ky'ewaabwe Nazaaleesi.