Luke 2:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne Yozefu n'ava e Galilaaya, mu kibuga ky'e Nazareti, n'ayambuka mu Buyudaaya, mu kibuga kya Dawudi kye bayita Beteleemu, kubanga yali wa mu nnyumba ya Dawudi na wa mu lunyiriri lwe;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yusufu n’ava e Nazaaleesi eky’e Ggaliraaya, n’agenda mu kibuga kya Dawudi ekiyitibwa Besirekemu eky’e Buyudaaya, kubanga yali wa mu kika kya Dawudi,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne Yusufu n'ava e Nazaaleesi mu kibuga eky'e Ggaliraaya, n'agenda e Buyudaaya, mu kibuga kya Dawudi, ekiyitibwa Besirekemu kubanga yali wa mu nnyumba era wa mu kika kya Dawudi,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne Yosefu n'ava mu kibuga Nazaareeti, eky'omu Galilaaya, n'agenda mu Buyudaaya, mu kibuga Dawudi kye yazaalibwamu, ekiyitibwa Betilehemu, kubanga Yosefu yali muzzukulu wa Dawudi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne Yusufu n'ava e Nazaaleesi mu kibuga eky'e Ggaliraaya, n'alinnya e Buyudaaya, okugenda mu kibuga kya Dawudi, ekiyitibwa Besirekemu, kubanga yali wa mu nnyumba era wa mu kika kya Dawudi,