Luke 2:42 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yaweza emyaka ekkumi n'ebiri, ne bambuka naye e Yeruzaalemu ng'empisa bwe yali.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu bwe yaweza emyaka kkumi n’ebiri egy’obukulu n’ayambuka e Yerusaalemi ne bakadde be ku mbaga, nga empisa yaabwe bwe yali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yesu bwe yaweza emyaka kkumi n'ebiri, ne bambuka e Yerusaalemi nga empisa y'embaga bwe yali:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu bwe yaweza emyaka ekkumi n'ebiri, ne bambuka e Yerusaalemu nga bwe baakolanga mu kiseera eky'Embaga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe yali Yaakamala emyaka kkumi n'ebiri, ne bayambuka nga bw'eri empisa y'embaga: