Luke 2:43 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Embaga enkulu bwe yaggwa, bwe baali baddayo, omwana Yezu n'asigala mu Yeruzaalemu; bakadde be ne batamanya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo embaga ng’ewedde, ne bakyusa okuddayo ewaabwe, naye omulenzi Yesu n’asigala mu Yerusaalemi, naye bazadde be ne batakimanya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
awo bwe baali baddayo ewaabwe, ng'ennaku ez'Embaga ziweddeko, omwana oyo Yesu n'asigala mu Yerusaalemi, naye bakadde be ne batamanya:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baali baddayo ewaabwe, ng'ennaku ez'Embaga ziweddeko, omwana Yesu n'asigala mu Yerusaalemu, bazadde be nga tebategedde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo bwe baatuusa ennaku zaabwe, baali nga baddayo, omwana oyo yesu n'asigala mu Yerusaalemi, ne bakadde be ne batamanya;