Luke 2:44 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baalowoozanga nti bali naye mu kisinde; ne batambula olugendo lwa lunaku lulamba; ne bamumagamaga mu beŋŋanda ne mu bamanyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga baalowooza nti ali ne bannaabwe mu kibiina ekirala, ekiro ekyo bwe bataamulaba, ne bamunoonya mu kibiina omwali baganda baabwe ne mikwano gyabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye bwe baamala okutambula olugendo lwa lunaku lulamba, nga balowooza ng'ali mu kisinde kyabwe, olwo ne bamunoonya mu baganda baabwe ne mu mikwano gyabwe:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baamala okutambula olugendo lwa lunaku lulamba, nga balowooza nti ali mu kibiina ky'abantu be baali batambula nabo, olwo ne bamunoonya mu baganda baabwe ne mu mikwano gyabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye bwe baalowooza ng'ali mu kisinde kyabwe, ne batambula olugendo lwa lunaku lumu, ne bamunoonya mu baganda baabwe ne mu mikwano gyabwe: