Luke 2:48 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baamulaba, ne bawuniikirira; nnyina n'amugamba nti: “Mwana wange, ekyatukoza otyo kiki? Kale laba kitaawo nange tubadde tukunoonya nga tuli beeraliikirivu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bazadde be bwe baamulaba ne beewuunya nnyo, nnyina n’amugamba nti, “Mwana waffe otukoze ki kino? Kitaawo nange tweraliikiridde nnyo nga tukunoonya!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe baamulaba ne basamaalirira: nnyina n'amugamba nti, “ Mwana wange, lwaki otukoze bw'otyo? laba, kitaawo nange twakunoonya nga tunakuwadde.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bazadde be bwe baamulaba, ne bawuniikirira. Nnyina n'amugamba nti: “Mwana wange, lwaki otukoze bw'oti? Kitaawo nange tubadde tukunoonya nga tweraliikirira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe baamulaba ne basamaalirira: nnyina n'amugamba nti Mwana wange, kiki ekitukozezza ggwe bw'otyo? laba, kitaawo nange twakunoonya nga tunakuwadde.