Luke 2:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'azaala omwana we omuggulanda wa bulenzi, n'amuzingazinga mu bugoye, n'amuzazika mu mmanvu; kubanga baali tebafunye kifo mu nnyumba y'abatambuze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’azaala omwana we omubereberye omulenzi, n’amubikka mu bugoye, n’amuzazika mu lutiba ente mwe ziriira, kubanga tebaafuna kifo mu nnyumba y’abagenyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'azaala omwana we omubereberye; n'amubikka mu ngoye ez'obwana obuwere n'amuzazika mu kisibo, kubanga tebaafuna kifo mu kisulo ky'abagenyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'azaala omwana we omuggulanda, wa bulenzi, n'amubikka mu bugoye, n'amuzazika mu mmanvu ebisolo mwe biriira, kubanga mu nnyumba y'abagenyi tebaafunamu kifo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'azaala omwana we omubereberye; n'amubikka mu ngoye ez'obwana obuwere n'amuzazika mu kisibo, kubanga tebaalaba bbanga mu kisulo ky'abagenyi.