Luke 20:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obudde bwe bwatuuka, n'atuma omuweereza eri abalimi nti bamuwe ku bibala by'ennimiro y'emizabbibu. Naye abalimi ne bamukuba, ne bamugoba ngalo nsa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ekiseera eky’amakungula bwe kyatuuka, n’atuma omu ku baddu be eri abalimi bamuwe ku bibala eby’emizabbibu gye. Naye abalimi abapangisa ne bamukuba ne bamugoba n’addayo ngalo nsa eri mukama we.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo mu biro eby'amakungula, abalimi n'abatumira omuddu, bamuwe ku bibala by'omu lusuku lw'emizabbibu: naye abalimi ne bamukuba, ne bamugoba nga tebamuwadde kintu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekiseera eky'amakungula bwe kyatuuka, n'atuma omuddu eri abapangisa, bamuwe ku bibala by'ennimiro y'emizabbibu. Kyokka abapangisa ne bamukuba, ne bamugoba nga tebamuwadde kantu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo mu biro by'omwaka abalimi n'abatumira omuddu, bamuwe ku bibala by'omu lusuku lw'emizabbibu: naye abalimi ne bamukuba, ne bamusindika nga talina kintu.