Luke 20:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nnyini nnimiro kwe kugamba nti: ‘Nkole ntya? Ka mbatumire omwana wange omwagalwa, oboolyawo banaamutya.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Nannyini nnimiro ne yeebuuza nti, ‘Nkole ntya? Ka mbatumire omwana wange gwe njagala ennyo, oboolyawo banaamussaamu ekitiibwa.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nnannyini lusuku olw'emizabbibu n'agamba nti, ‘Nnaakola ntya? Ka ntume omwana wange omwagalwa: mpozzi oyo balimussaamu ekitiibwa.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo nnannyini nnimiro y'emizabbibu n'agamba nti: ‘Kiki kye nnaakola? Nja kutuma omwana wange omwagalwa, mpozzi ye banaamussaamu ekitiibwa.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oyo mukama w'olusuku lw'emizabbibu n'agamba nti Nnaakola ntya? Ka ntume omwana wange omwagalwa: mpozzi oyo balimussaamu ekitiibwa.