Luke 20:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Alijja n'azikiriza abalimi abo n'ennimiro ye ey'emizabbibu n'agikwasa abalala.” Olwawulira ekyo, ne bagamba nti: “Kikafuuwe!”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Agenda kujja abazikirize bonna, n’ennimiro agiwe abalala.” Awo bwe baabiwulira ebyo ne bagamba nti, “Ekintu ng’ekyo kireme kubaawo!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Alijja n'azikiriza abalimi abo, n'olusuku lw'emizabbibu aliruwa abalala.” Bwe baawulira ebyo, ne bagamba nti, “Ebyo bireme okubaawo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Alijja n'azikiriza abapangisa abo, era ennimiro y'emizabbibu n'agissaamu abalala.” Bwe baawulira ebyo ne bagamba nti: “Ekyo kireme kubaawo!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Alijja n'azikiriza abalimi abo, n'olusuku lw'emizabbibu aliruwa abalala. Bwe baawulira ebyo, ne bagamba nti Bireme okubaawo.