Luke 20:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Yezu n'abeekaliriza, n'abagamba nti: “Kale ekyawandiikibwa kino kitegeeza ki: “ ‘Ejjinja abazimbi lye baagaana, lye lyafuuka lukulwe mu nsonda’?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’abatunuulira n’abagamba nti, “Kale ekyawandiikibwa kino kitegeeza ki? Ekigamba nti, “ ‘Ejjinja abazimbi lye baagaana, lye lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ye n'abatunuulira n'agamba nti, “Kale kiki kino ekyawandiikibwa nti, “Ejjinja abazimbi lye baagaana, Eryo lye lyafuuka omutwe ogw'oku nsonda?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Yesu n'abatunuulira, n'agamba nti: “Kale kino ekyawandiikibwa kitegeeza ki? ‘Ejjinja abazimbi lye baagaana, lye lyafuuka ekkulu ery'entabiro.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ye n'abatunuulira n'agamba nti Kale kiki kino ekyawandiikibwa nti Ejjinja abazimbi lye baagaana, Eryo lye lyafuuka omutwe ogw'oku nsonda?