Luke 20:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bakabona abakulu n'abawandiisi ne banoonya okumukwata mu kaseera ako kennyini, naye ne batya abantu, anti baali bategedde nti olugero olwo yali aluyisizza ku bo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abannyonnyozi b’amateeka ne bakabona abakulu bwe baawulira ebigambo ebyo, ne baagala bamukwatirewo mangwago, kubanga baamanya ng’olugero lwali lukwata ku bo. Naye ne batya abantu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abawandiisi ne bakabona abakulu ne basala amagezi okumukwata mu kiseera ekyo; ne batya abantu, kubanga baategeera nti ku bo kw'ageredde olugero.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abannyonnyozi b'amateeka ne bakabona abakulu ne bagezaako okukwata Yesu mu kaseera ako, kubanga baamanya nti olugero olwo yalugera nga lukwata ku bo, kyokka ne batya abantu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abawandiisi ne bakabona abakulu ne basala amagezi okumussaako emikono mu kiseera ekyo; ne batya abantu; kubanga baategeera nti ku bo kw'ageredde olugero olwo.