Luke 20:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne bamulumba, ne bamugamba nti: “Tutegeeze ebyo obikozesa buyinza ki, oba ani yakuwa obuyinza obwo?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bamubuuza nti, “Tubuulire, buyinza ki obukukozesa bino? Era ani eyakuwa obuyinza obwo?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne boogera naye ne bamugamba nti, “ Tubuulire; buyinza ki obukukoza bino? Oba ani eyakuwa obuyinza obwo?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne bamugamba nti: “Tubuulire, olina buyinza bwa ngeri ki okukola ebintu bino? Era ani yakuwa obuyinza obwo?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne boogera nga bamugamba nti Tubuulire; buyinza ki obukukoza bino? Oba ani eyakuwa obuyinza obwo?