Luke 20:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne batasobola kumukwasa mu bigambo bye awo mu maaso g'abantu; ne beewuunya nga bw'azzeemu, ne basirika busirisi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne balemwa okumukwasa mu ebyo bye yaddamu ng’abantu bonna bali awo. Bye yaddamu ne bibeewuunyisa nnyo, ne basirika busirisi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne batayinza kumukwasa mu nsonga yonna mu kigambo ekyo kye yayogerera mu maaso g'abantu, ne beewuunya ky'azzeemu, ne basirika.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne batasobola kumukwasa mu kintu na kimu kye yayogera mu maaso g'abantu. Ne beewuunya ky'azzeemu, ne basirika.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne batayinza kuggya nsonga mu kigambo ekyo mu maaso g'abantu, ne beewuunya ky'azzeemu, ne basirika.