Luke 20:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Muyigiriza, Musa yaleka atuwandiikidde nti: singa muganda w'omuntu afanga ng'abadde n'omukazi naye nga tabadde na baana, muganda we awasanga omukazi oyo n'asibusiza muganda we ezzadde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omuyigiriza, amateeka ga Musa gagamba nti ssinga omusajja omufumbo afa nga tazadde baana, muganda we awasenga nnamwandu alyoke afunire muganda we omufu ezzadde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nga bagamba nti, “ Omuyigiriza, Musa yatuwandiikira nti Muganda w'omuntu bw'afanga ng'alina omukazi, nga talina mwana, muganda we awase omukazi oyo addizeewo muganda we ezzadde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Muyigiriza, Musa yatuwandiikira ekiragiro nti: ‘Singa omuntu afa, n'aleka nnamwandu, kyokka n'ataleka mwana, muganda w'omufu ateekwa okuwasa nnamwandu oyo, alyoke azaalire muganda we abaana.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga bagamba nti Omuyigiriza, Musa yatuwandiikira nti Muganda w'omuntu bw'afanga ng'alina omukazi, nga talina mwana, muganda we awase omukazi oyo addizeewo muganda we ezzadde.