Luke 20:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'owookusatu n'amuwasa; bonna omusanvu bwe batyo, naye ne bafa nga tebalese baana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okutuusa abooluganda bonna lwe baafa ne baggwaawo nga buli omu awasizza ku nnamwandu oyo, kyokka nga tewali alese mwana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'ow'okusatu n'amuwasa; era bwe batyo bonna omusanvu ne bafa, ne batalekaawo baana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era n'owookusatu bw'atyo. Bonna omusanvu baamuwasa, ne bafa nga tebalese mwana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ow'okusatu n'amuwasa; era bwe batyo bali omusanvu ne bafa, ne batalekaawo baana.