Luke 20:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale mu mazuukira aliba muka ani? Anti bonna omusanvu baamuwasaako.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale mu kuzuukira omukazi oyo aliba muka ani? Kubanga abooluganda bonna omusanvu yabafumbirwako!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale mu kuzuukira aliba muk'ani ku abo? Kubanga bonna omusanvu baamuwasa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale ku lunaku olw'okuzuukira, omukazi oyo aliba muk'ani, nga bonna omusanvu baamuwasa?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale mu kuzuukira aliba muka ani ku abo? kubanga bonna omusanvu baamuwasa.