Luke 20:36 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
manyanga tebakyayinza kuddamu kufa, kubanga baliba nga bamalayika na baana ba Katonda, anti nga baana ba kuzuukira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era tebaddayo kufa nate, kubanga baba nga bamalayika. Era baba baana ba Katonda kubanga baba bazuukizibbwa mu bulamu obuggya,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga baliba tebaakyafa nate: kubanga baliba nga bamalayika; era be baana ba Katonda, nga bwe bali abaana b'okuzuukira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“kubanga baliba tebakyayinza kufa nate. Baliba nga bamalayika, era baliba baana ba Katonda olw'okuba baliba bazuukidde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga n'okufa tebayinza kufa nate: kubanga bali nga bamalayika; era be baana ba Katonda, nga bwe bali abaana b'okuzuukira.