Luke 20:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate bwe tugamba nti: ‘Yava mu bantu,’ abantu bajja kutukuba amayinja, kubanga bakakasa nti Yowanna yali mulanzi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ate bwe tunaddamu nti, ‘Kwava mu bantu,’ abantu bonna bajja kutukuba amayinja, kubanga bamatizibwa nti Yokaana yali nnabbi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bwe tunaagamba nti Kwava mu bantu; abantu bonna banaatukuba amayinja: kubanga bakkiririza ddala Yokaana okuba nnabbi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ate singa tugamba nti abantu be baamutuma, abantu bonna bajja kutukuba amayinja, kubanga bakkiririza ddala nti Yowanne mulanzi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bwe tunaagamba ati Kwava mu bantu; abantu bonna banaatukuba amayinja: kubanga bakkiririza ddala Yokaana okuba nnabbi.
Recommended Reading