Luke 20:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo n'atandika okugerera ekibiina olugero luno, nti: “Waaliwo omuntu eyasimba ennimiro y'emizabbibu, n'agikwasa abalimi, ye n'agenda ku ggwanga ebbanga ggwanvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu n’akyukira abantu n’abagerera olugero luno nti, “Waaliwo omusajja eyalina ennimiro ey’emizabbibu, n’agipangisa abalimi, n’agenda olugendo, n’amalayo ebbanga ddene.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'asooka okubuulira abantu olugero luno nti, “ Omuntu omu yasimba olusuku lw'emizabbibu, n'alusigira abalimi, n'agenda mu nsi endala n'alwayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu n'agerera abantu olugero luno nti: “Waaliwo omuntu eyasimba ennimiro y'emizabbibu, n'agissaamu abapangisa, n'alaga mu nsi ey'ewala, n'alwayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'asooka okubuulira abantu olugero luno nti Omuntu omu yasimba olusuku lw'emizabbibu, n'alusigira abalimi, n'agenda mu nsi endala n'alwayo.