Luke 21:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Walibaawo musisi ow'amaanyi ne mu bifo ebimu walibaayo enjala ne kawumpuli; walibaawo n'ebitiisa n'obubonero obunene okuva mu ggulu;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wagenda kubeerawo musisi ow’amaanyi ennyo, n’enjala ennyingi mu bitundu eby’enjawulo, ne kawumpuli. Walibaawo n’ebyentiisa ate n’obubonero okuva mu ggulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
walibaawo n'ebikankano ebinene, ne mu bifo ebirala enjala ne kawumpuli; walibaawo n'ebitiisa n'obubonero obunene obuva mu ggulu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Walibaawo okukankana kw'ensi okw'amaanyi, n'enjala ne kawumpuli mu bitundu bingi. Era walibaawo eby'entiisa n'ebyamagero ennyo ebiriva mu ggulu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
walibaawo n'ebikankano ebinene, ne mu bifo ebirala enjala ne kawumpuli; walibaawo n'ebitiisa n'obubonero obunene obuva mu ggulu.