Luke 21:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ebyo nga tebinnabaawo, balibakwata, balibayigganya, balibatwala mu sinaagooga ne mu makomera; mulitwalibwa mu maaso ga bakabaka n'abalamuzi okubeera erinnya lyange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Naye bino byonna nga tebinnabaawo balibayigganya, balibakwata. Balibawaayo mu makuŋŋaaniro, ne mu maaso ga bakabaka ne bagavana, ku lw’erinnya lyange, ne musibibwa ne mu makomera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ebyo byonna nga tebinnabaawo, balibakwata, balibayigganya, nga babawaayo mu makuŋŋaaniro ne mu makomera nga babatwala mu maaso ga bakabaka n'abaamasaza olw'erinnya lyange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye byonna nga tebinnabaawo, balibakwata, balibayigganya, ne babawaayo okuwozesebwa mu makuŋŋaaniro, n'okusibibwa mu makomera. Mulitwalibwa mu maaso ga bakabaka n'ag'abaami olw'erinnya lyange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ebyo byonna nga tebinnabaawo, balibassaako emikono, balibayigganya, nga babawaayo mu makuŋŋaaniro ne mu makomera nga babatwala eri bakabaka n'abaamasaza olw'erinnya lyange.