Luke 21:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga nze ndibawa ebigambo n'amagezi abalabe bammwe bonna bye bataliyinza kwaŋŋanga na kuwakanya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga ŋŋenda kubawa ebigambo n’amagezi ebiriremesa n’abalabe bammwe okubaako n’eky’okuddamu!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga nze ndibawa ebigambo mu kamwa n'amagezi, abalabe bammwe bonna bye bataliyinza kuwakana nabyo newakubadde okubigaana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze ndibawa ebigambo n'amagezi, abalabe bammwe bonna bye bataliyinza kuwakanya wadde okugaana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga nze ndibawa akamwa n'amagezi, abalabe bammwe bonna bye bataliyinza kuwakana nabyo newakubadde okubigaana.