Luke 21:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bazadde bammwe, baganda bammwe, abeŋŋanda ne mikwano gyammwe balibawaayo, balittamu n'abamu mu mmwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Muliweebwayo bakadde bammwe, ne baganda bammwe ne mikwano gyammwe, balibawaayo mukwatibwe, era abamu ku mmwe muttibwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye muliweebwayo abazadde bammwe, n'ab'oluganda, n'ab'ekika, n'ab'omukwano; n'abamu ku mmwe balibatta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muliweebwayo bazadde bammwe ne baganda bammwe, n'ab'ekika kyammwe, ne mikwano gyammwe. Era abamu ku mmwe balittibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye muliweebwayo abazadde bammwe, n'ab'oluganda, n'ab'ekika, n'ab'omukwano; n'abamu ku mmwe balibassa.