Luke 21:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Walirabika obubonero mu njuba ne mu mwezi ne mu mmunyeenye; ate mu nsi amawanga galyeraliikirira olw'okuwuluguma kw'ennyanja n'amayengo;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Walibaawo obubonero ku njuba, ne ku mwezi, ne ku mmunyeenye. Wano ku nsi amawanga galibeera mu kunyolwa, olw’ab’amawanga, ng’abantu basamaaliridde olw’ennyanja eziyira n’amayengo ageesiikuula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era walibaawo n'obubonero ku njuba ne ku mwezi ne ku mmunyeenye; ne ku nsi amawanga galinakuwala, nga basamaalirira olw'okuwuuma kw'ennyanja n'okw'amayengo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Walibaawo ebyamagero ku njuba ne ku mwezi ne ku mmunyeenye. Ku nsi amawanga galyeraliikirira nga gatya olw'okuwuuma kw'ennyanja n'okw'amayengo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era walibaawo n'obubonero ku njuba ne ku mwezi ne ku mmunyeenye; ne ku nsi amawanga galinakuwala, nga basamaalirira olw'okuwuuma kw'ennyanja n'amayengo;