Luke 21:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
abantu balizirika olw'okutya n'okulindirira ebigenda okujjira ensi yonna; kubanga amaanyi ag'omu ggulu galinyeenyezebwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu baliggwaamu amaanyi ne bazirika nga batidde nnyo olw’ebirijja ku nsi; kubanga amaanyi g’eggulu galinyeenyezebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
abantu balizirika olw'entiisa n'olw'okweraliikirira ebyo ebijja ku nsi: kubanga amaanyi ag'omu ggulu galikankanyizibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu balizirika olw'entiisa n'olw'okweraliikirira ebigenda okubaawo ku nsi, kubanga eby'amaanyi mu bwengula bw'ebbanga birinyeenyezebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
abantu nga bazirika olw'entiisa n'olw'okutunuulira ebyo ebijja ku nsi: kubanga amaanyi ag'omu ggulu galikankanyizibwa.