Luke 21:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mulabanga ebyo bitanula okubaawo, muyimiriranga busimba ne mulalamya emitwe gyammwe, kubanga okununulibwa kwammwe kuli kumpi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale ebintu ebyo bwe bitandikanga muyimiriranga butereevu ne muyimusa amaaso gammwe waggulu! Kubanga okulokolebwa kwammwe nga kusembedde.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ebigambo ebyo bwe bitandikanga okubaawo mutunulanga waggulu, muyimusanga emitwe gyammwe: kubanga okununulibwa kwammwe kunaatera okutuuka.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ebyo bwe biritandika okubaawo, musituke era muyimuse emitwe gyammwe, kubanga okununulwa kwammwe kuli kumpi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ebigambo ebyo bwe bitanulanga okubaawo mutunulanga waggulu, muyimusanga emitwe gyammwe: kubanga okununulibwa kwammwe kunaatera okutuuka.