Luke 21:34 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kale mwekuume, sikulwa ng'emitima gyammwe giggweera mu kunywa ne mu butamiivu n'okweraliikirira okw'obulamu buno, olunaku luli ne lubagwako bugwi ng'omutego;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mwekuume muleme okwemalira mu binyumu n’okutamiira, n’okweraliikirira eby’obulamu, okujja kwange okw’amangu kuleme kubakwasa nga temugenderedde ng’abagudde mu mutego.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Naye mwekuumenga emitima gyammwe gireme okuzitoowererwanga olw'obuluvu n'okutamiiranga n'okweraliikiriranga eby'obulamu buno, era olunaku luli luleme okubatuukako ng'ekyambika;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mwekuume, emitima gyammwe gireme okwemaliranga mu buluvu, ne mu kutamiira, ne mu kweraliikirira eby'obulamu buno, sikulwa ng'olunaku luli lubatuukako nga temwetegese,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye mwekuumenga emitima gyammwe gireme okuzitoowererwanga olw'obuluvu n'okutamiiranga n'okweraliikiriranga eby'obulamu buno, era olunaku luli luleme okubatuukako ng'ekyambika;