Luke 21:36 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno mutunule ebbanga lyonna, nga mwegayirira, musobole okuwona ebyo byonna ebigenda okujja, musobole n'okuyimirira mu maaso g'Omwana w'Omuntu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mutunule nga musaba Katonda buli kiseera, abawe amaanyi okubasobozesa okuwona ebintu ebyo byonna, Omwana w’Omuntu bw’alijja mulyoke musobole okuyimirira mu maaso ge.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye mutunulenga mu biro byonna musabenga musobole okudduka ebyo byonna ebigenda okubaawo n'okuyimirira mu maaso g'Omwana w'omuntu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale nno mutunule nga mwegayirira Katonda ekiseera kyonna, mulyoke musobole okuyita mu ebyo byonna ebijja okubaawo, era musobole okulabika mu maaso g'Omwana w'Omuntu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye mutunulenga mu biro byonna musabenga musobole okudduka ebyo byonna ebigenda okubaawo n'okuyimirira mu maaso g'Omwana w'omuntu.