Luke 21:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga abo bonna bataddemu ebirabo nga baggya ku bibafikkiridde; sso ng'ono mu bwavu bwe ataddemu kyonna ekibadde eky'okumuliisa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga bagabye kitono nga bakiggya ku bugagga bwe bafisizzaawo, naye nnamwandu mu bwavu bwe awaddeyo kyonna ky’alina.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga abo abalala bonna basuddemu ku bibafikkiridde mu birabo: naye oyo mu kwetaaga kwe kwonna asuddemu byonna by'ali nabyo, ebibadde eby'okuyamba obulamu bwe bwonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga bo abalala bonna batodde ku bingi bye balina ne bateeka mu birabo, kyokka ono omwavu ataddemu kyonna ky'abadde alina ekibadde eky'okuyamba obulamu bwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga abo bonna basuddemu ku bibafikkiridde mu birabo: naye oyo mu kwetaaga kwe asuddemu byonna by'ali nabyo, bwe bulamu bwe bwonna.