Luke 21:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abamu bwe baali bayogera ku Kiggwa nga bwe baakiwoomya n'amayinja amalungi n'ebitone, n'agamba nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne wabaawo aboogera ku bulungi bw’amayinja agaweebwayo eri Katonda okuzimba Yeekaalu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era abamu bwe baali boogera ku Yeekaalu, nga bwe yayonjebwa n'amayinja amalungi n'ebiweebwayo, n'agamba nti,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abamu bwe baali boogera ku Ssinzizo nga bwe lyazimbibwa n'amayinja amalungi, era nga bwe lyatimbibwa n'ebirabo ebirirabisa obulungi, Yesu n'agamba nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era abamu bwe baali boogera ku yeekaalu, bwe yayonjebwa n'amayinja amalungi n'ebiweebwayo, n'agamba nti