Luke 21:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo ne bamubuuza nti: “Muyigiriza, ebyo biribaawo ddi, era kabonero ki akalyoleka ebyo nga binaatera okubaawo?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bamubuuza nti, “Omuyigiriza, ebyo biribaawo ddi? Ye walibaawo akabonero akaliraga nti biri kumpi okubaawo?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bamubuuza nga bagamba nti, “Omuyigiriza, kale ebyo biribaawo ddi? Kabonero ki akalibaawo ebyo bwe biriba nga bigenda okubaawo?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne babuuza Yesu nti: “Muyigiriza, ebyo biribaawo ddi? Era kabonero ki akaliraga nti binaatera okubaawo?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bamubuuza nga bagamba nti Omuyigiriza, kale ebyo biribaawo ddi? Kabonero ki akalibaawo ebyo bwe biriba nga bigenda okubaawo?