Luke 21:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abagamba nti “Mwekkaanye, temuwubisibwanga; kubanga bangi balijja mu linnya lyange nga bagamba nti: ‘Nze wuuyo!’ oba nti: ‘Obudde butuuse!’ Temugezanga nno kubagoberera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’addamu nti, “Mwekuume muleme kulimbibwalimbibwa. Kubanga bangi balikozesa erinnya lyange, nga bagamba nti, ‘Nze nzuuyo.’ Naye temubakkirizanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agamba nti, “Mutunule muleme okukyamizibwa; kubanga bangi abalijja nga beeyita erinnya lyange, nga boogera nti Nze nzuuno; era nti Obudde bunaatera okutuuka: temubagobereranga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'agamba nti: “Mwerinde muleme kubuzibwabuzibwa; kubanga bangi balijja nga beeyita nze, era nga bagamba nti: ‘Ekiseera ekirindirirwa kituuse.’ Temubagobereranga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agamba nti Mutunule muleme okukyamizibwa; kubanga bangi abalijja n'erinnya lyange, nga boogera nti Nze nzuuno; era nti Obudde bunaatera okutuuka: temubagobereranga.