Luke 21:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe muliwulira entalo n'obutabanguko, muleme kutengera; ebyo tebirirema kusooka kubaawo, naye yo enkomerero teriba ya mangu ago.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bwe muwuliranga entalo n’obwegugungo, temutyanga. Kubanga entalo ziteekwa okusooka okujja, naye enkomerero terituuka mangwago.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bwe muwuliranga entalo n'ebikankano, temwekanganga: kubanga ebyo kibigwanira okusooka okujja; naye enkomerero terituuka mangwago.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe muwuliranga entalo n'obwegugungo, temutyanga. Ebyo biteekwa okusooka okubaawo, naye enkomerero terituuka mangwago.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bwe muwuliranga entalo n'ebikankano, temwekanga: kubanga ebyo kibigwanira okusooka okujja; naye enkomerero terituuka mangu ago.