Luke 22:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abagamba nti: “Bwe munaaba muyingira mu kibuga, omusajja eyeetisse ensumbi y'amazzi ajja kubasisinkana; mumugoberere okutuuka mu nnyumba mw'anaayingira;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’abaddamu nti, “Munaaba mwakayingira mu kibuga, mujja kulaba omusajja eyeetisse ensuwa y’amazzi ng’atambula. Mumugoberere okutuuka mu nnyumba mw’anaayingira,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abagamba nti, “Laba, bwe munaaba muyingidde mu kibuga munaasisinkana omuntu eyeetisse ensuwa y'amazzi; mumugoberere okutuuka mu nnyumba mw'anaayingira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abagamba nti: “Laba, bwe munaaba nga muyingira mu kibuga, munaasisinkana omuntu eyeetisse ensuwa y'amazzi, mumugoberere okutuuka mu nnyumba mw'anaayingira,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abagamba nti Laba, bwe munaaba muyingidde mu kibuga munaasisinkana omuntu anaasisinkana nammwe eyeetisse ensuwa y'amazzi; mumugoberere mu nnyumba mw'anaayingira.