Luke 22:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abagamba nti: “Neegombanga nnyo okulya Pasika eno wamu nammwe nga sinnaba kubonaabona;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Ebbanga eryo lyonna mbadde ndowooza nnyo ku Kyekiro kino eky’Okuyitako, nga njagala nkirye nammwe nga sinnaba kubonyaabonyezebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abagamba nti, “Nneegombye nnyo okuliira awamu nammwe Okuyitako kuno nga sinnabonyaabonyezebwa:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abagamba nti: “Njagadde nnyo okulya awamu nammwe Embaga eno Ejjuukirirwako Okuyitako, nga sinnaba kubonaabona.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abagamba nti Nneegombye nnyo okuliira awamu nammwe Okuyitako kuno nga sinnabonyaabonyezebwa: