Luke 22:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kubanga, ka mbabuulire, n'okuva kati, siriddayo kunywa ku kibala kya muzabbibu okutuusa obwakabaka bwa Katonda lwe bulijja.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga mbagamba nti, Sigenda kuddayo kunywa ku kibala kya muzabbibu okutuusa ng’obwakabaka bwa Katonda buzze.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga mbagamba nti Okusooka kaakano sirinywa ku bibala ku muzabbibu, okutuusa obwakabaka bwa Katonda lwe bulijja.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga, mbagamba nti okuva kati sijja kwongera kunywa mwenge gwa mizabbibu, okutuusa Obwakabaka bwa Katonda lwe bulijja.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga mbagamba nti Sirinywa okusooka kaakano bibala ku muzabbibu, okutuusa obwakabaka bwa Katonda lwe bulijja.