Luke 22:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo n'akwata omugaati, ne yeebaza, n'agumenyamu, n'agubawa ng'agamba nti: “Kino mubiri gwange ogunaweebwayo ku lwammwe. Kino mukikolanga okunzijukira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate n’atoola omugaati, bwe yamala okwebaza Katonda, n’agumenyaamenyamu, n’abagabira ng’agamba nti, “Guno gwe mubiri gwange oguweebwayo ku lwammwe. Mukolenga bwe muti nga munzijukira.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'addira omugaati ne yeebaza, n'agumenyamu, n'abawa ng'agamba nti, “ Guno gwe mubiri gwange oguweebwayo ku lwammwe: mukolenga bwe mutyo okunjijukiranga nze.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'atoola omugaati, ne yeebaza Katonda, n'agumenyaamenyamu, n'abawa ng'agamba nti: Kino mubiri gwange [oguweebwayo ku lwammwe. Mukolenga kino okunzijukira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'addira omugaati ne yeebaza, n'agumenyamu, n'abawa ng'agamba nti Guno gwe mubiri gwange oguweebwayo ku lwammwe: mukolenga bwe mutyo okunjijukiranga nze.