Luke 22:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yakola ne ku kikompe ekyeggulo nga kiwedde, n'agamba nti: “Ekikompe kino eky'okuyiwa ku lwammwe, ye ndagaano empya mu musaayi gwange.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baamala okulya ekyekiro, n’addira nate ekikompe era mu ngeri y’emu n’akibakwasa ng’agamba nti, “Ekikompe kino ke kabonero ak’endagaano ya Katonda empya ekakasibwa mu musaayi gwange oguyiyibwa ku lwammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'ekikompe bwatyo bwe baamala okulya, ng'agamba nti, “ Ekikompe kino ye ndagaano empya mu musaayi gwange, oguyiika ku lwammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekyekiro bwe kyaggwa, n'abawa n'ekikopo mu ngeri ye emu, ng'agamba nti: “Ekikopo kino ye ndagaano empya ekoleddwa Katonda n'ekakasibwa n'omusaayi gwange oguyiibwa ku lwammwe.]
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'ekikompe bw'atyo bwe baamala okulya; ng'agamba nti Ekikompe kino ye ndagaano empya mu musaayi gwange, oguyiika ku lwammwe.