Luke 22:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abagamba nti: “Bakabaka b'ab'amawanga babafuga, n'ababaliko obuyinza bayitibwa balyoyi,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Yesu n’abagamba nti, “Bakabaka b’abamawanga bafuga abantu baabwe, n’ab’obuyinza ne babazunza mu kino na kiri, naye abafugibwa tebalina kya kukola wabula okubayita abayambi baabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'abagamba nti, “Bakabaka b'ab'amawanga babafuga, n'abo abalina obuyinza ku bo bayitibwa abakola obulungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'abagamba nti: “Bakabaka b'amawanga bafugisa bukambwe, era abo ababa n'obuyinza ku bantu, beeyita bayambi baabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abagamba nti Bakabaka b'ab'amawanga babafuga; n'abo abalina obuyinza ku bo bayitibwa abakola obultmgi.