Luke 22:35 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bonna awamu n'abagamba nti: “Bwe nabatuma nga temulina nsawo, yadde endyanga newandibadde musaasaane, waliwo kye mwajula?” Ne bagamba nti: “Tewali.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yesu n’ababuuza nti, “Bwe nabatuma okubuulira Enjiri, ne mutatwala nsimbi wadde ensawo, oba omugogo omulala ogw’engatto, mwalina okwetaaga ekintu kyonna?” Ne baddamu nti, “Nedda.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abagamba nti, “Bwe nnabatuma nga temulina nsawo, newakubadde olukoba, newakubadde engatto, mwaliko kye mwetaaga?” Ne bagamba nti, “Nedda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu n'abagamba nti: “Bwe nabatuma nga temututte nsawo ziterekebwamu nsimbi, newaakubadde ensawo ng'ez'abasabiriza, wadde engatto, waaliwo kye mwetaaga ne mutakifuna?” Ne baddamu nti: “Tewaali.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abagamba nti Bwe nnabatuma nga temulina nsawo, newakubadde olukoba, newakubadde engatto, mwaliko kye mwetaaga? Ne bagamba nti Nedda.