Luke 22:36 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abagamba nti: “Naye kaakano alina ensawo agikwate, kye kimu n'endyanga; ate atalina kitala atunde omunagiro gwe yeegulire ekitala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’abagamba nti, “Naye kaakano alina ensawo eterekebwamu ensimbi agitwale, n’ensawo ng’ey’omusabiriza bwe mutyo. Atalina kitala, atunde ku ngoye ze akyegulire!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abagamba nti, “ Naye kaakano, alina ensawo, agitwale, n'ow'olukoba bw'atyo: era atalina kitala atunde olugoye lwe akigule.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abagamba nti: “Naye kaakano oyo alina ensawo eterekebwamu ensimbi agitwale, n'oyo alina ensawo ng'ey'abasabiriza naye akole bw'atyo. Era atalina kitala, atunde ekkooti ye akigule,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abagamba nti Naye kaakano, alina ensawo, agitwale, n'ow'olukoba bw'atyo: naye atalina kitala atunde olugoye lwe akigule.