Luke 22:37 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga ka mbabuulire, kino ekyawandiikibwa tekirema kutuukirira ku nze nti: ‘Yabalirwa mu bajeemu,’ kubanga ebyanjogerwako bituuse okukomekkerezebwa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga mbagamba nti kyetaagisa okutuukirizibwa mu nze ekyawandiikibwa nti, ‘Yabalirwa wamu n’abamenyi b’amateeka,’ ebinkwatako biteekwa okutuukirira.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga mbagamba nti kino ekyawandiikibwa kigwanidde okutuukirizibwa ku nze nti Yabalirwa wamu n'abasobya: Kubanga ekiŋŋwanira kirina okutuukirira”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga mbagamba nti kino ekyawandiikibwa nti: ‘Yabalirwa wamu n'abamenyi b'amateeka,’ kiteekwa okutuukirizibwa ku nze. Ebyo ebifa ku nze biteekwa okutuukirizibwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga mbagamba nti kino ekyawandiikibwa kigwanidde okutuukirizibwa ku nze nti Yabalirwa wamu n'abasobya: kubanga ekiŋŋwanira kirina okutuukirira.